POWERFUL WITCH DOCTOR KANSIIWA

ENDWADDE EZAGAANA OKUWONA NE DR KANSIIWA

Kojja Kansiiwa

ENDWADDE EZAGAANA OKUWONA


1. Gwe oba omuntuwo yenna nga alina obulwadde obwagaana okuwona, oba ssiriimu.

(a) Sooka ofune eddagala eryoza mubiri munda
* Oyinza okusekula Amanda agatanaba kufumbako, nosanga kumazzi nonywa. Oba ekisandasanda kifumbire mu minwe gy’amatooke 3 ogirye oddukane obukyaafu bwonna.
(b) Bwomala ofumbeyo kuddagala erkaawa nga: ebombo, omululuza oba ekigaji. Biyamba akalulwe okweyongera amanyi.
(c) Osembyeyo n’okugatta ebika by’emiddo nga 12 egitali gyabutwa, ogifumbire eddakiika 20 zzokka onywe.
* Ogya kutereera naawe wewuunye.


ENDWADDE YEBIZIBU.


2. Buli mabega w’ekizibu kyonna, wabaayo obuwanguzi bwotayinza kulabirawo, okugyako nga omaze okukivunuka.
(a) Gyekikoma okuba ekyamaanyi, n’obuwanguzi bwe kyetisse, nabwo buba bwamaanyi.
(b) Eby’okulabirako
* Okugya mukibuga, embeera embi ey’omukyaalo
Yeyakugobayo.
* N’okutandikawo bbizinensi gyolyenyumirizaamu, bamala kukugoba gyebakukozesa.
* N’okwezimbira, omala kulaba nga bakubanja nnyo ez’ennyumba ezabuli mwezi newetamwa.
(c) Okulinnya eddaala eddala mubulamu bwo, era olimara kufuna kizibu ekirizukusa obwongo bwo.
* Amakulu nti, ebizibu byebitutuusa kubuwanguzi Katonda bweyatutegekera munsi.

ENDWADDE Y’OBWAVU


3. Ebisumulula emikisa gy’okugaggawala biri bisatu.

(a) Okwebaza nnyo Katonda kyekisooka. Yassuubiza mubyawandiikibwa nti; bwe munaneebaza, nja kubongera.
(b) Okugaba kuz’ofunye, nakyo kisumulula emikisa gy’okugaggawala.
* Kyosiga kyokungula, bwosiga kasooli – gwo kungula, bwosiga lumonde – gwo kungula, bwosiga sente – z’okungula.
* Annonya obugagga nga tagaba, abanga oyo atasiga nsigo nalinda amakungula.
(c) Okutereka kuz’ofunye, nakyo kisumulula emikisa gy’okugaggawala
* Ettaka lyebatuunda kulayisi olw’ebizibu, bwelikusanga nga olinawo z’oterese, kikwanguyira okuligula, oluvannyuma n’olitunda kubbeyi eyawaggulu.
* Okufuna obwangu mukutereka, bweziwerawo, zitwaale mu bbanka, bw’ozitereka awaka, buli kizibu ekikutuukako, olabanga eky’etagisa sente, be bwekiba kyetagisa kukozesa bwongo nabuguminkiiriza byokka.

ERA OBADDE OKIMANYI NTII


(i) Erinnyo nga likuruma, bwosekula entangawuuzi nogirumirawo kikkakkana.

(ii) Ekifuba: eniimu gisale ogiyiweko evvu onuune.
(iii) Embalabe:amafuta gettaala gatabule mubizigo wesiige.
(iv) Oluwumu: ekisula kitabule mu mazzi wesiige
(v) Olubuto olukuluma ne biwuuka mu lubuto, Amanda agatanaba kufumbako gasekule osse kumazzi onywe.
(vi) Olubuto nga lwesibye ennyanya zifumbe nga temuli mazzi onywe.
(vii) Omutwe omuteezi; Obusa bwente oba ekimuli kyolusambya biguwonya
(viii) Kamunguluze: amazzi gentonyeze lye ddagala eriwonya
(ix) Entunuusi: ebikuta byagonja byanike obyokye onuune
(x) Endira ne nseke: ejjirikiti, kamunye na kasaana lyeddagala eriziwonya
(xi) Okulwa munsonga:ebikoola byensujju lyeddagala eriwonya
(xii) Okulumwa munsonga; ssere, kamunye, nebibajjo bya ova lyeddagala
(xiii) Okubundula: ejjirikiti, nekamunye biwonya
(xiv) Nabbuguuma agyamu embuto: ebibajjo by’omutuba, kamunye nebikola bye mwanyi ly’edaggala.
(xv) Ebbeere ebbanyi: ddoodo wa magwa lyeddagala eriwonya.
(xvi) Omwana owokubiri nga aganye okufuluma: ofuuwa muccupa na fuluma
(xvii) Avuddemu olubuto: yenga kamunye onywe.
(xviii) Emmeme yemabega mubaana: taaba n’amalagala ga lumonde biyengere wamu obitekeyo.
(xix) Emmeme yomumaaso:amalagala galumonde gayengere mazzi osengejje osekule nenkejje otabulemu anywe.
(xx) Okusesema nokuddukana mu baana, evvu lyotabula mu mazzi n’omunywesa.
Ebyo n’ebirala bisange mukatabo kano. Entanda Y’okwewonnya Endwadde.
Kalimu Endwadde 100: eza Bonna, ez’abaana, eza bakyala, n’abembutto.

Kojja Kansiiwa is a trusted African witchdoctor and traditional herbalist with years of experience helping people solve problems related to love, money, protection and spiritual healing. Using powerful traditional rituals and herbal methods, he provides fast, effective and confidential solutions tailored to each individual.

Discover how Kojja Kansiiwa can help transform your life.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *